Okwekalakaasiza ku kitebe kya China; poliisi ekutte abayizi basatu ne munnansi wa Belgium
Poliisi mu Kampala ekutte abayizi basatu okuva mu matendekero ag'enjawulo ne munnansi wa Belgium ng'ebalanga kwekalakaasiza ku kitebe ky'eggwanga lya China. Bano babadde bawakanya enteekateka z'okuzimba omudumu ogutambuza amafuta okuva gye gasimirwa okutuuka gye kakenenulirwa nga bazze bakalakaala n'ekiwandiiko ekisaba gavumenti ya China obutateeka nsimbi mu nteekateeka eno. Abekalakaasi, bagamba nti okuzimba omudumu guno kigenda kukosa obutonde bw'ensi ate nga gavumenti si nnambulukufu ku butya bw'etekaateka kubutaasa. Omudumu guno gwakuva Hoima okutuuka e Tanga mu Tanzaia era nga gwakubeera n'obuwanvu bwa kilo mita 1443.