OKWETEGEKERA AKALULU KA 2026: Aba Uganda Federal Alliance eronze obukulembeze obujja
Bannakibiina ki Uganda Federal Alliance batuuzizza tabamiruka W'ekibiina ow’omulundi ogw’okusatu , nga omu ku kaweefube ow’okwetegekera okulonda kwa 2026 okusemberedde. Ttabamiruka ono abadde wa kulonda mukulembeze wa kibiina omuggya ng’embiranye ey’amaanyi eri wakati wa Dr. Robert Lujja ne Ibrahim Nsamba.