Olukung’aana lwa NAM: Engeri eby’ensula n’entambula y’abagenyi gye byategekeddwa
Eby'ensula y'abagenyi ssaako n'entambula yaabwe byasiddwako nnyo essira mu kwetegekera olukungaana lw'amawanga ga Nampawengwa olugenda okumala ennaku nga luyindira e Munyonyo Tukitegedde nti woteeri nkaaga mu Kampala ne Ntebe ze zaalondeddwa okusuza abagenyi okuli abakulembeze b'amawanga n'abakungu okuva mu mawanga agenjawulo agagenda okwetaba mu lukungaana luno Ezimu ku mmotoka ezigenda okutambuza abakungu zaasimbye dda e Kololo nga zirinze kukola mulimu.