OMUPIIRA GW’ABAKYALA: Ttiimu ya St. Noah Girls beetegekera ekitundu ky’okubiri
Abazannyi ba ttiimu ya St. Noa Girls FC batandise okutendekebwa nga beetegekera oluzannya olw’okubiri olwa liigi y’eggwanga ey’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere ey’okubiri, eyitibwa Finance Trust Women’s Elite League egenda okuddamu okutojjera ku ntandikwa y’omwezi ogujja.Bano olw’aleero enkambi yaabwe yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw’eyaliko kapiteeni waabwe, Aisha Nantongo nga Kati asamba gwa nsimbi mu ggwanga lya Misiri okubakyalira.