Oukwatibwa kwa Eron Kiiza; bannakyewa bekalakaasizza
Abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu 7 abaakwatiiddwa enkya ya leero nga bekalakaasa olw'okukwatibwa kwa munnamateeka Eron Kiiza basimbiddwa mu kkooti y'eddaala erisooka ku BUganda Road nebaggulwako omusango gw'okweyisa ng'ekitagasa. Bano emisango egibaguddwako bagyegaanidde mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi era ba puliida baabwe nemabusaba abantu baabwe abakkirize okweyimirirwa. Abakwate basangiddwa n'obusaati obuwandikiddwako obubaka obwemulugunya ku kkooti y'amagye okuwozesa abantu ba bulijjo, nga bino byonna oludda oluwaabi lulowooza nti bujulizi bwa nkukunala mu musango guno. Kkooti ebakkirizza okweyimirirwa ku kakalu ka kakadde kamu buli omu wabula nga si kaabuliwo era neebata balye butaala. '