PALAMENTI Y’OMUKAGO: Abantu 29 be bagenda okuvuganya
Abantu 28 bebakiriziddwa okuvuganya ku bifo omwenda Uganda byerina mu palamenti ya East Africa era nga bakulondebwa ababaka ba palamenti nga 29 omwezi guno. Abasunsuddwa olwaleero kuliko aba NRM mukaaga, owa DP Gerald Siranda, owa UPC Fred Ebil, saako owa FDC Harold Kaija n'abalala. Kyo ekibiina kya NUP kyagaana okusimbawo omuntu mu kalulu kano, ngakyekwasa ekibiina kya NRM okweddiza ebifo ebisinga obungi.