Poliisi ekutte “Yesu Muto” ku by’abaana
Poliisi ekute omusumba Johnson Ogola amanyiddwa nga Yesu muto wamu ne bakyala be babiri n'abagoberezibe babiri mu woteri emu mu bitundu by'e Zana. Ono yakwatiddwa mu kiro ekikeseza olwa leero mu busenge obubiri bwabadde yapangisiza ku woteri eno nga mwakumira n'abaana 14. Yesu muto agamba abaana bano babe.