SHARON NATUKUNDA ALABISE: Agamba eby’okutulugunyizibwa bba bye byamuddusa awaka
Sharon Natukunda abadde akunukkiriza mu mwezi mulamba nga tamanyiddwako mayitire oluvannyuma lw'okubula okuva mu maka ga bba amaze nazuulwa . Ono yasangiddwa ku kyalo Kiteezi-Kabaga mu ggombolola y’e Wakiso, gyabadde apangisa akazigo era natubuulira ekyamubuza.