Ssenyonyi aloopedde bannadiini ensonga
Omusumba omukulu ow'ekanisa ya St Andrew's Church Bukoto Rev Canon Michael Mukhwana asabye abakuuma ddembe okukomya obwanantagambwako ekibaviirako okukozesa obubi emmundu. Bino abyogeredde mu kusaba kwa ssekukulu ku St Andrew's Church Bukoto. Ye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi asinzidde eno okusaba bannayuganda okujumbira eby'obufuzi n'okusabira eggwanga ku buli bw'enguzi obukudde ejjembe ensangi zino.