Ssenyonyi awezezza omwaka mu wofiisi y’oludda oluvuganya gavumenti
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi leero lw'awezezza omwaka gumu bukya atuula mu woofisi eno ng'adda mu bigere bya Mathias Mpuuga. Ssenyonyi atubuulidde nti byasinze okukola kwe kugatta abavuganga gavumenti bonna, n'okwanika obukenuzi nenkozesa ya wofiisi embi erudde nga efumbekedde mu palamenti.Juma Kiirya, awayizaamu naye.