Temukebeza baana ndaba-butonde - Ssaabalabirizi Kaziimba akalaatidde abazadde
Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu awakanyizza eky'abazadde abakebeza abaana endagabutonde n'ekigendererwa eky'okukakasa nti baabwe. Kaziimba agamba nti abaana nga bano kigwanye abazadde babeere nabo ng’abaana bebayola obwozi okusinga okubakebeza ate nekisattulula amaka. Ssaabakabirizi yakulembeddemu okusinza kwa ssekukkulu ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.