TEMUTAMBULA NA SSENTE NNYINGI: Poliisi ekoze okulabula, obubbi bweyongedde
Poliisi esabye abantu naddala abo abalina ssente enyingi okufuna obukuumi mu kifo ky'okumala gatambula nazo . Bano era baweeredwa amagezi ku nkola ey’omutimbagano eriwo omuntu mwasobola okuwerereza ssente yonna gyaba yetaaga . Kino kidiridde emisango emingi egizze giropebwa ku poliiisi ez’enjawulo nga gyabubbi bwa ssente. Mu gimu ku misango gino mwemuli n'omu Poliisi mu bitundu by’e Mpigi agambibwa okuba nga yenyigidde mu kubba ssente ezili eyo mu kawumbi kalamba.