UNEB eyogedde lwaki ebigezo bya p7, s4 ne s6 bibbwa nnyo
Ab'ekitongole ky'ebigezo mu ggwanga ki UNEB bategeezezza nga bwebagenda okwongera okumyumyula engeri ebigezo gye bitambuzibwamu okutuuka abayizi webabikolera. UNEB egamba nti bazze bafuna okwemulugunya ku bantu ababba ebigezo bino mu kaseera webitambuzibwa okutusiibwa ku ssomero olw'abavunaanyizibwa ku mulimu guno okugusuulirira.Ebigezo by’omwaka guno bitandika mwezi gujja.