UPDF; Twafunye emmundu e Karamoja ezisukka mu 200
Emmundu eziwerera ddala 273, zeezaggyiddwa ku banyaguluzi b'ente mu kikwekweto kya 'Usalaama Kwa Wote' ekiyindira mu bitundu bye Karamoja.Amagye era gasobodde okuwamba ebidomola bya waragi ebisoba mu 50 mu kibuga kye Moroto agambibwa okuba ng’abadde atamiiza abavubuka nebadda mu kumenya amateeka.