Waliwo ameekalirizo oba labaratories agatali ku mutindo okukebera omusujja gw’omubyenda
Ministry y'ebyobulamu eriko okulabula kw'ekoze ng'eyagala abantu okutandika okwegendereza Ameekalirizo oba Labaratories gye bagenda okukeberwa obulwadde bw'omusujja gw'omubyenda oba Typhoid, ssaako omusujja gw'ekibumba ogumanyiddwa ennyo nga Brucella. Okusinziira ku minisita w'ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng, bakitegedde nti Ameekalirizo agamu tegalina bukugu kukebera ndwadde zino nga kiviiriddeko abantu okuweebwa eddagala eribujanjjaba kyokka nga tebabulina ate nekibaleetera ebizibu ebirala ku bulamu bwabawe.