ZUNGULU: Ba GEN Z bakola efujjo wano na wali
Omuyimbi eyayimba nti guno omulembe gwazaliibwa kutulumya mutwe, ayinza okuba nga yali mutuufu, kubanga kati ebbanga lya sabiiti bbiri nga ab'ebyokwerinda tebalina busizzo, kubanga ba GENZ bakola efujjo wano na wali.Olw'abadde okuva mu bawakanya enguzi, poliisi yazze ku basawo ba interns, abo yabadde yakabamala amampaati nezireeta aba Ghetto ababbye ekyalo kiramba, bye babbye nebabikweka mu ceiling z'obuyumba bwebapangisa.Poliisi yasiibye ewalampa nju ku nju okununula ebintu by'abatuuze.