AB'E BUNYORO BAGAALA UNIVERSITY:Bawaddeyo ettaka lya yiika 20
Abakulembeze kko n’abatuuze mu kitundu ky’e Bunyoro baagala gavumenti etuukirize ekisuubizo kyayo eky’okubazimbira University, kiyambe okutumbula eby’enjigiriza mu kitundu kino. Bano bagamba nti mu bitundu by’e ggwanga byonna, Bunyoro yokka y’etalina tendekero ku mutendera guno , kye bagamba nti kibakosa. Bawaddeyo yiika 20 eri entekateeka z’okuzimba University eno, nga lino lisaliddwa ku ssomero li Bulera Core Primary Teacher’s College.