Obutakkaanya mu bakulembeze e Mbarara buremeseza ekisawe kya Kyakyeka okuzimbibwa
Obutakkaanya wakati w’obukulembeze e Mbarara n’ekibiina ky’eby’emizannyo ki National Sports Council bukyalemeseza okuddabiriza ekisaawe kye kakyeka nga abakulu balumiriza ekibiina okwagala okubanyagako ekyapa ky’ettaka ly’e kisaawe kino.
Bagamba ekisaawe kino kisaana kiddaabirizibwe kisobole okukozesebwa mu mizannyo enjenjawulo kuba kikola kinene nnyo okuleeta esimbi mu gwanika lya disitulikiti.