Bannakibiina ba NUP beeyiye ku kitebe kyabwe e Kavule okukungubagira Ssegirinya
Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akuutidde bannakibiina kye okulabira ku mugenzi Muhammad Ssegirinya byabadde akola nabo basobole okuyamba abantu baabwe bebakiikirira.
Kyagulanyi agamba okuva Ssegirinya lweyalondebwa, abadde tamuwulira ngako kakuku okujjako ebigambo ebimusuuta okuva mu bantu ab’enjawulo.
Bino okubyogera, abadde mukukungubagira omugenzi akawungezi k’eggulo ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule.