SSEGIRINYA N'EKKOMERA:Bibiino ku bizze bibeerawo mu kkooti
Obulamu bw’omubaka Mohammad Ssegirinya okumwononekera, bwatandika nyo nga ali mu kkomera e Kigo era wano obulwadde obwali bumubala embiriizi gyebwasajjukira.
Wadde yasabanga okweyimirirwa afune obujjanjabi naye kino tekyasobokanga enfunda eziwera.
Tukukung’anyiriza ebimu kwebyo ebyajja bibeerawo mu kkooti nga battunka n’emisango egy’ekuusa ku kutta abantu e Masaka n’ebijjambiya.