Poliisi egobeddwa mu kizimbe; ebanjibwa ssente z'obupangisa e Kamuli
Wabadewo akasattiro ku kyalo Nabirumba mu gombolola y’e Nabwigulu mu disitulikiti ye Kamuli nanyini kizimbe omuli poliisi bwaginaabidde mu maaso n’abalagira bagyamuke.
Bano babadde babanjibwa akakadde kalimba – kino kireseewo okutya mu by’okwerinda eri abatuuze nebakkanya okusala amagezi okusigaza poliisi eno.