Ab'e Kayunga baguddemu enkyukwe oluvanyuma lw’okusanga amagumba g’omwana gwebaludde nga banoonya
Abatuuze ku kyalo Nakirubi mu disitulikiti y’e Kayunga, baguddemu enkyukwe oluvanyuma lw’okusanga amagumba g’omwana gwebaludde nga banoonya. Omwana ono asangiddwa abazimbi mu nyumba y’omutuuze omu, bwebabadde bagenze okuyiwa enkokoto. Taata w’omwana agamba oluvanyuma lw’okuwaayo ssente abawamba omwana ze baamusaba, tebaddamu kubawuliza.