Besigye ne munne Obeid Lutale bongeddwako ogw’okulya mu nsi yabwe olukwe
Kkooti y'amagye ey’ogende omusango omulala ku Dr. Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale ogw’okulya mu nsi yabwe lukwe. Kkooti eno etudde ekya yaleero era n’ebagattako omuntu omulala nga wa UPDF. Yye Besigye ne munne bagamba ono tebamumanyi. Kkooti eno yaakuddamu okutuula olunaku lw’enkya.