Abantu babiri bafudde e Njeru oluvanyuma lw'ekintu ekitannategeerekeka okubwatuka nekibakuba
Ekikangabwa kibuutikide abatuuze ku kyalo Triangle mu minisipaali y’e Njeru e Buikwe abantu babiri bwe bafiiriddewo oluvanyuma lw'ekintu ekitannategeerekeka okubwatuka nekibakuba. Ababiri abafudde kubaddeko Ayub Mpanda ne Emmanuel Tumwebaze nga bano babadde basala ekintu ekibadde kyefaananyiriza empumumpu nga kigambibwa yandiba nga ebadde bbomu.