Poliisi e Kamuli etubidde n'omulambo gw’omukazi oluvanyuma lw’okumusanga mu loogi ng’afudde
Poliisi mu disitulikiti y’e Kamuli eriko mulambo gw’omukazi gwetubidde nagwo oluvanyuma lw’okumusanga mu loogi ng’afudde. Ono ateeberezebwa okuba ow’emyaka 32, asangiddwa ku buliiri nga mufu mu loogi ya Savana pub and accommodation. Bino bibadde ku kyalo Gabula - Kitimbo, Kasoigo Ward mu munisipaali y’e Kamuli mu disitulikiti eno. Poliisi ekutte manager w’ekifo kino abayambeko mu kunoonyereza.