Ab'e Namugongo bali mu kikangabwa olw'okusanga mutuuze munnabwe ng'attiddwa
Abatuuze b’e Namugongo Nsawo bakeerede mu kikangabwa okusanga mutuuze munnaabwe ng’attiddwa. Omugenzi ye Daniel Lubowa nga abadde musuubuzi w’amasimu - ono yasaliddwako obulago omulambo gwe negusuulibwa okumpi n’amaka ge. Abatuuze bategezeeza ng’embeera y’eby’okwerinda bwekyali ennafu mu kitundu kyabwe.