Ab'oludda oluvuganya boogeredde gav't amafukule
Abakulembeze okuva mu bibiina eby'enjawulo ebivuganya gavumenti baakukolaganira wamu okulwanirira enkyukakyuka mu bukulembeze bw'eggwanga. Bano okweyama bati, babadde mu kusabira Dr. Kizza Besigye omukama amugumye gyali n’abasibe abalala nga babadde ku kitebe kya NUP e Makerere - Kavule. Eby’okwerinda bibadde binywezeddwa okwetoloola ekitebe kyonna.