Ab’oluganda ku kyalo Kati-kkolo basobeddwa olw’enkaayana ku ttaka
Waliwo ab’oluganda ku kyalo Kati-kkolo munisipaali y'e Mukono abasobeddwa olw’enkaayana ku ttaka lyebagamba nti kyabwe. Balumiriza omuntu gwebaawa ebiwandiiko okubafunira ekyappa kyoka yye n’alyezza. Ekisinga okubaluma nti ono waluganda lwabwe nga yalina okubapuntira ettaka lino bafunye ekyapa nga olwatwala ebiwandiiko bazeemu kuwulira nga litandise okutundibwa. Bano baasaliddewo ddala kusula ku ttaka lyabwe okutuusa nga bafunye obwenkanya.