Abakulembeze ba PDM e Ssembabule beegobye olwa gav't n'abantu bebaweereza
Abakulembeze b’enteekateeka ya Parish Dev’t Model e Kasaana mu town y’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule basazeewo okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe olw'okusomoozebwa okutebereka kwebasanze okuva mu gavumenti n’abantu bebaweereza. Bino bituukiddewako mu lukungaana lwebabaddemu okulaba enteekateeka eno bwetambuzibwa mu muluka guno.