Abakulembeze be Apac bakubaganyiza ebirowoozo ku bikyalemye
Abakulembeze ba munisipaali ya Apac basabye gav’t okubakwatizaako ku bizibu ebyakyabalamye okukulaakulanya disitulikiti eno okusingira ddala enguudo. Baliko ebizibu ebirala byebanokoddeyo nga omusolo omutono gwebasolooza olw’eby’enfuna ebinafu mu kitundu kyabwe nga kwotadde n’obutaba na masanyalaze. Okwogera bino babadde mu lukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo ku biki byebatuseeko n’ebyo ebikyalemye.