Abakyala abalimi b'ekokkola obutaba na bwannanyini ku ttaka
Abakyala abalimi mu Uganda bagamba nti eky’obutaba na ttaka lya bwanannyini kwe balimira kikyabalemesezza okwetaba mu kulima eby’okutunda. Bagamba nti bafaayo okulima, naye esinga bagirya na baana babwe, ekikyabakuumidde mu bwavu. Bino babyogeredde ku mukolo ogw’okujjukira olunaku lw’abakyala ab’omubyalo olutegekeddwa ekibiina ekitaba abalimi abavubuka ki Young farmers federation of uganda.