Abakyala abasuubuzi beekalakaasiza olw'okubakugira okukola
Abasuubuzi mu katale k’e Rwebikoona mu kibuga Mbarala bavudde mu mbeera nebegugunga nga entabwe evudde ku bakulembeze mu kanso eno okubalemesa okukola. Kanso ye mbalala yalagira bano okukola olunaku lumu mu wiiki ate nga bakola kiro ekintu kyebawankya. Abasinze okwegugunga be bakyala abatunda enyanya, ebijanjalo n’ebirala naddala ebivunda. Ayogerera e kibuga Mbarara Aminah Naluyima agamba enkyukakyuka eno yakolebwa oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu butale obulala.