Abasawo e Kiruddu bakola butaweera okulaba nga bataasa obulamu bw’abantu abaayokeddwa e Kigoowa
Abasawo mu ddwaliro e Kiruddu bakola butaweera okulaba nga bataasa obulamu bw’abantu abaayokeddwa mu kabenje k'emmotoka y’amafuta akagwaawo ku lw’okubiri e Kigoogwa.
Mu kiseera kino e kiruddu waliyo abantu 25 abafuna obujanjabi, banna ku bbo bali mu kasenge omujanjabirwa abayi.
Kyoka abasawo batubuulidde nti okubawonya kukyali kulafuubana kuba abamu banuuusa omukka ogw’obulabe ogwava ku mafuta.