Abasubuuzi mu katale ka Kinyolo e Lugazi bali mukusoberwa olw’omuliro okusanyawo ebintu byabwe
Abasubuuzi abakakkalabiza emirimu gyabwe mu katale ka Kinyolo mu minisipaali y’e Lugazi e Buyikwe bali mukusoberwa olw’omuliro okusanyawo ebintu byabwe. Omuliro guno gwatandise ssaawa kumi ez’okumakya nga tekinnategerekeka kweguvudde. Batubuulidde nti guno sigwemulundi ogusoose akatale kaabwe okukwata omuliro. Omubaka omukyala owa disitulikiti eno Diana Mutasingwa ate nga ye minisita omubeezi ow’obwapulezidenti ategeezezza nga bwagenda okukwatagana ne wofiisi ya ssaabaminisita okulaba nga bano bayambibwa.