Abasuubuzi mu katale k’omu Kijungu e Mbarara benyamivu olw’embeera gyebakoleramu
Abasuubuzi abakolela mu katale k’omu Kijungu mu kibuga ky’e Mbarara benyamivu olw’embeera gyebakoleramu atenga bagyibwako empooza nyingi kyoka tebalaba ky'ebayamba. Bbo abakulembera ekibuga Mbarara bagamba akatale kano kaatandika n’abasuubuzi batono nga kati beeyongera era bbo kyebatunuulidde kya kukazza mu kitundu kirala.