Omukazi aliko obulemu atubidde n’abaana basatu e Lugoba mu Kawempe
E Lugoba mu Kawempe eriyo omukazi aliko obulemu atubidde n’abaana basatu. Rashida Nakimuli wa myaka 24 eyali bba yamuddukako olwategeera nti azadde abalongo. Agamba bwasaba emirimu tebagyimuwa olw’obulemu – nga kati embeera emuzimbiridde nga asaba kuyambibwa.