Abatuuze batabukidde munnaabwe abadde agezaako okulemesa abakola oluguudo okutema emiti
Abatuuze batabukidde munnaabwe abadde agezaako okulemesa abakola oluguudo okutema emiti egyiri ku kkubo. Bano bakalambidde nga bwebatasobola kukkiriza muntu omu kulemesa nkulaakulana ya kitundu gyebaludde nga bayayaanira. Bino bibadde ku kyalo Busagazi mu muluka gwe Natteta e Nazigo mu Kayunga.