Abe Kakiri bakukkulumidde ab’eby’okwerinda olw’obutakola mulimu gwabwe
Abakulembeze mu tawuni kanso y’e Kakiri bakukkulumidde ab’eby’okwerinda olw’obutakola mulimu gwabwe ekivuddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera mu kitundu kyabwe. Bagamba abamenyi b’amateeka olukwatibwa nga bayimbulwa, nebaddamu buto okubatigomya. Bbo ab’eby’okwerinda okuli poliisi n’amagye basuubiza okwongera okukwatagana n’abatuuze okulaba nga balwanyisa obumenyi bw’amateeka.