Abavuga ez’eby’amaguzi bazzeemu okwediima lwa magye g’e South Sudan
Baddereeva ba loole z'eby’amaguzi ebiva e uganda okugenda e South Sudan nakati bakyeremye okusala ensalo okugenda e South Sudan nga bagamba tebalina bukakafu ku bukuumi bwabwe. Bano bamaze kati sabiiti bbiri ng'emmotoka okuli eby'amaguzi bazisimbye ELegu olwabanaabwe okuttibwa mu Sudan nga tewali ayamba, kko nensonga endalaKati leero abakulu okuva ku njuyi zombi bagezezaako okubawoyawoya, kyoka bongedde okuluma ejjiiko bwebakitegedde nti waliwo munaabwe omulala attiddwa mu South Sudan