NEMA ezeemu ebikwekweto byayo eby'okukwata abantu abekomezaawo ku ttaka ly'olutobazi lwa Lubigi
Ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ki NEMA kizeemu ebikwekweto byakyo mwekikwatidde abantu abekomezaawo ku ttaka ly'olutobazi lwa Lubigi. Wetutuukiddeyo nga abamu badduse nga buyumba busigadde bukalu nebabumenya.