Abazigu abamenye edduuka nebabba ebintu saako n’okutta omuvubuka e Mityana
Poliisi e Mityana eriko abazigu benoonya abamenye edduuka nebabba ebintu saako n’okutta omuvubuka. Nathan Kakooza eyasangiddwa mu dduka lino. Kiteeberezebwa nga abazigu bano omugenzi yabadde abamanyi nga kyekyamusizza. Abatuuze basabye eby’okwerinda byongezebweko naddala mu biseera bino ng’enaku enkulu zisembera.