Ssentebe wa Kassanda avumiridde okutulugunya abaana okusuukiridde mu disitulikiti ye
Ssentebe wa disitulikiti y’e Kassanda Kasirye Zimula, avumiridde okutulugunya abaana okusuukiridde mu disitulikiti ye, nga kw’otadde n’okukabasanyizibwa naddala ab’enganda. Kati agamba wakukola ekikwekweto nga anoonya amaka agatulugunya abaana nga anakwatibwa kakumujjuutuka - okwogera bino abadde ku Ssomero li Seed pulayimale school e Kassanda. Ate ku ssomero erya GAJ pulayimale erisangibwa e Kamuseenene omukulembeze walyo Justine Danga, akubirizza abazadde okukomya okulagajjalira abaana baabwe, kibataase okuyiga emize saako n’okugwa mu mikono gy’abantu abakyamu.