Abasawo b’obwongo basomesezza ab'e Masaka ku butya bwebasobola okwewalamu obutabanguko mu maka
Abasawo b’obwongo okuva mu minisitule y’eby’obulamu batandise okutalaaga amasomero ag’enjawulo mu bendobendo lya Masaka okusomesa abayizi n’abazadde butya bwebasobola okwewalamu obutabanguko mu maka n’obwavu ebibaviiriddeko okulwala endwadde z’obwongo. Bagamba nti omuwendo gw’abantu abalwadde obwongo gweyongedde mu kitundu kino nga entabwe eva ku butabanguko mu maka.