Ab'eby’okwerinda e Makindye basabye abatuuze okwettanira okukola okumalawo obutabanguko mu maka
Abatwala eby’okwerinda mu division ya Makindye mu Kampala basabye abatuuze okwettanira okukola kibayambe okumalawo obutabanguko mu maka naddala nga kizuuliddwa nti businga kuleetebwa bwavu. Bano bagamba abantu obutaagala kukola kibaleetera okubeera ba kireereesi, ekibaviirako okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga n’obutabaguko mu maka mwobutwalidde. Bano babadde mu kujaguza ennaku 16 ez’okulwanyisa obutabanguko mu maka wamu n’ekitongole ki Justice Centre Uganda e Lukuli mu kasaawe.