Beti Kamya akubirizza abantu naddala abavubuka okwenyigira mu kulwanyisa obulyi bw’enguzi
Kaliisoliiso wa gav’t, Beti Kamya akubirizza abantu naddala abavubuka okwenyigira mu kulwanyisa obulyi bw’enguzi obufumbekedde mu ggwanga obuzing’amizza enkulaakulana. Ono agamba nti olw’okuba abavubuka be basinga obungi, omuze guno buli lwegweyongera, gusinga kukosa bbo. Kati ono ayagala batandike okwanika abakungu ba gav’t abakulaakulanira ku misinde banoonyerezebweko.