Abantu basatu bafudde oluvanyuma lw’ettabi ly’omuti gwa Nakayima e Mubende okumenyeka negubagwira
Abantu basatu bebakakasiddwa okuba nga bafudde oluvanyuma lw’ettabi ly’omuti gwa Nakayima e Mubende okumenyeka n’egugwira bantu abasoba mu kumi ababadde bazze okusaba empewo z’abajjajja. Wano omu yafiiriddewo ate abalala nebafa nga bakatuusibwa mu ddwaliro e Mubende, bino bibabaddewo ku saawa 12 ez’okumakya. Kitegeerekese nti bano babadde bazze kwebaza omuti guno maama Nakayima okubeerawo buli mwaka nga omukolo gubadde gwakubeerawo olunaku lw’enkya nga Katikkiro Charlse Peter Mayiga y’abadde asuubirwa okuba omugenyi omukulu.