Abakulembeze e Buyikwe batandise kaweefube w'okujja bannekolera gyange ku nguudo
Abakulembeze mu disitulikiti y’e Buyikwe batandise kaweefube w'okujja bannekolera gyange ku nguudo. Batandise na bamalaya abakolera mu munisipaali y’e Njeru nga babayigiriza emirimu gy’emikono bave mu mulimu guno.