Akakiiko k’eddembe ly’obuntu kenyamivu olw’obutonde bw’ensi obususse okusaanyizibwawo
Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga kalaze obwenyamivu olw’obutonde bw’ensi obususse okusaanyizibwawo mu ggwanga. Bagamba newankubadde waliwo amateeka agavunaana abasanyawo obutonde bw'ensi bangi tebagafaako ekiviiriddeko amataba kko n’okuyigulukuka kw’ettaka mu bitundu ebimu buli nkuba bwetonya. Kati bano basazeewo nga bwebagenda okukyalira abantu ab’enjawula abazze bakosebwa embeera y’ebibamba.