Emirambo 28 mu kiseera kino gyegyizuuliddwa nga gyabuutikirwa ettaka mu disitulikiti y’e Bulambuli
Emirambo 28 mu kiseera kino gyegyizuuliddwa nga gyabuutikirwa ettaka mu disitulikiti y’e Bulambuli eryasenda ebyalo ebiwera. Ekimotoka ki weetiye kireteddwa okwongera amaanyi ku gye lya UPDF n’abatuuze okufuna abakyalegamidde mu ttaka. Kiteeberezebwa emirambo gy’abantu egisoba mu 90 teginnalabika.