Abalimira ku Rwenzori baweereddwa obukodyo
Oluvannyuma lw'amataba n'okuyigulukuka kw'ettaka okweyongera mu bitundu by'ensonzi za Rwenzori, kizze kikakasibwa nti emirimu egikolebwa abantu ng'okulima n'okutema emiti ye kanaaluzaala. Kakati okumala akaseera abalimi mu nsozi zino, bazze bayigirizibwa obukodyo n'ennima esaanidde mu bifo nga bino etajja kuviirako etandise n'okubaviiramu ebibala.Ennima eno erimu n'okusimira amazzi amakubo, ku mulundi guno yatasiizza abalimi bangi obutafiirwa birime byabwe.